Akadde By Flash Love, Reign & Maulana (Lyrics)

Uuuuhhh... Reign Maulana...
Munange Naawe... Eeh! Oooh...


Waliwo ekintu ky'osabirira
N'otuuka ate okkyevuma
Katonda bwenamusaba tube bulungi
Samugambako nti olina okunnumya
Love...! Love...!
Yadde love enyuma nnyo ng'olina sente
Naye buli kimu tekiggwa na sente
N'abaana tebakyakulaba
Odda mu ttumbi onoonya kiki naawe
Sente!
Sente mmeka ezo z'oyagala
Onoonya ensimbi ofiirwa amaka naawe
Mwaami, nfissiza akadde naawe
Okimanyi tebulikya nkukyaawe
Okaabya banno bo naawe, eeeh!

Nkwagala naye
Empisa zo nedda nkoze nfubye
Mwaami nkwagala naye
Okulembeza nnyo sente nedda mbikooye
Eeeeh...! Munange nkwagala naye
Love tesasula fees leka nkole, eeeh...
Nkwagala naye
Omukwano omutali sente ogwo gwa kiyaaye


Waŋŋamba oyagala nnyo nkole nga
Ekyo kyekimbunya amawanga
Sente nzifunye zewali wesunga
Kati ate biki byewekyanga
Sente n'obudde
Bizibu nnyo okkwatagana mmaka
Nze n'amanyi gampedde
Njagala nnyo mukyala wange, ye nga ndabye
Nfubye nnyo ommuwa obudde
Naye aŋŋambye tebumumala
Kyokka nekumulimu jenkola. Hah!
Naye obudde tebummala
Nange nfuuba-fuba nkole
Tulabirire betwazaala
Kuba bwetunabazaala nebajeera
Ogenda ate kunkyaawa
Ojjukira Topher gwebakyaawa
Yasiiba nga mu love kwewaana
Wenjogerera omukyaala batwaala
Yabuuka n'omugagga, Topher basuula

Sente!

Nkwagala naye
Empisa zo nedda nkoze nfubye
Mwaami nkwagala naye
Okulembeza nnyo sente nedda mbikooye
No,no,no...! Munange nkwagala naye
Love tesasula fees leka nkole, eeeh...
Nkwagala naye
Omukwano omutali sente ogwo gwa kiyaaye


Kigasa ki okukola
Ng'ewaka ssi basanyufu, okelera ani?
Ah! Nebwensiiba ewaka
Ewatali sente, tojja kusanyuka
Nze ssafumbirwa sente
Nafumbirwa gwe muntu, wawasa ani?
Nawasa gwe mukyala
Naye lwenabulwa ezenviiri wajula okunzita
Ziriwera ddi yeeeh! Mmala myezi ssikulabye
Gwe tuula kakkana mukwano kanjiribe
Obudde bw'oyagala guma ngattirire
Nkwagala nnyo munange, ekyo kimanye
Esente kankole omukwano guggumire
Nze nalaalira dear, gwe agamba
Sente bw'ofuna, come back
Byonna dear okira, gwe agamba
I love you very-very much oh!

Mwaami, nfissiza akadde naawe
Okimanyi tebulikya nkukyaawe
Okaabya banno bo naawe, eeeh!

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Privacy Overview

This website uses cookies so that we can provide you with the best user experience possible. Cookie information is stored in your browser and performs functions such as recognising you when you return to our website and helping our team to understand which sections of the website you find most interesting and useful.