Muntu Wange By Vivian Mimi (Lyrics)

Kakkana! Kakkana!

Muntu wange bwoba olumwa
Nange, eno mba nnumwa
Byoyitamu eyo binkosa
Gwe bw'okaaba, Nz'eno gajjula
Mukwano gwo gwegummala amaanyi
Ate era, gunzizaamu amaanyi
Buli bwentunula ku kifaanyanyi
Nebwemba nafuwa nziramu amaanyi
Buli bwobulawo, mbeera mugonvu
N'obulamu buba bumpi ssi buwanvu
Yeggwe antukuza okukira ku kyoovu
Gwe ba omu-Husband mbe omu-Wife

Manya nditambula naawe nga sittide
Oli mumutima munda mw'otudde
Kuba nkimanyi bangi baby b'osudde
Bali mu maziga bateredde ntende
Omanyi omutima gwagaana
Gwagoba abalala gwagaana
Omutima gwagaana
Gwagoba abalala gwagaana

Ndikwesibako ppaka kulunaku lw'embaga
Obasinze omukwano obasinze n'eswagga
Tuliba butoola nga lujji na pata
Bali tubatebuke bo tebatufata
Ebitaala byantadde
Yeggwe Katonda gw'ampadde
Nkusaba nerw'olwadde
Mbe omusawo wo bwoba ng'okyagadde
Kuba nkumanyi, ddala baby nkumanyi
Ebikunyiga n'ebisanyusa mbimanyi
Kuba nkumanyi, ddala baby nkumanyi
Ebikunyiga n'ebisanyusa mbimanyi

Manya nditambula naawe nga sittide
Oli mumutima munda mw'otudde
Kuba nkimanyi bangi baby b'osudde
Bali mu maziga bateredde ntende
Omanyi omutima gwagaana
Gwagoba abalala gwagaana
Omutima gwagaana
Gwagoba abalala gwagaana

One thought on “Muntu Wange By Vivian Mimi (Lyrics)”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Privacy Overview

This website uses cookies so that we can provide you with the best user experience possible. Cookie information is stored in your browser and performs functions such as recognising you when you return to our website and helping our team to understand which sections of the website you find most interesting and useful.