Olwaleero twazze bulembwe ne Mr. Guitar emitwetwe nemujjayo Tutandike okuba ng'abanyumya, sso nga mubutuufu nsomesa Mugenda nemugamba abantu, nti oyo tayimba yekunkumula Vaawo mujjukiza namwe abalogo, nebanzita mufiirwe omuntu Gwe bwoba nga onsiimye ojjanga, nga ndi wabbali eyo emanju N'onsiimira mpola mu nkukutu, abalogo bagaane okumanya Tokayana gwe bwoba onjagala, munno akuliranye akosebwa Eno ensi bweyabeera kuva dda, ku jajja Adam mukwate ebitabo Era bwekityo tekigenda kufuuka, kunsi tutambulako twegendereza Nze mukwano gwange asinga, y'ono guitar amanyidde ebizibu Mbagala nyo namwe abalala, kyenva situula kka b'erabira Nkeera nentabaala emiruka, mbanoonyeze ebizimba emyoyo Naye muteekayo nyo omwooyo, kaninde mumale okwetegeka Kuba sisuubira bbadiramu, ky'onosubwa kirinde olulala Laba abatamanyi babuuza abaliranyewo, nti ani baana battu ayimba Sirina nsonyi nja kweyanjulayo, mbawonye tebabalimba olulala Yenze Ssemakula ow'olugave, n'erya Herman nalyo nkyalirina N'erya Basudde kasangwawo, mwe leritera obbanguyira Ooohh... Aaahhh... Ooohh... Aaahhh... Bwendi teacher tunazuuzumba abantu mubadde ki abafuuse ebisolo Teriiyo munnno kunsi olimba, tukiriziganye nti oli omu Boyita mikwano jo nakalyako ani bwoddayo bawenje obubugo Munda wandisangayo ate ebirala, n'okkiriza ntinno ntunula N'emikwano ejiwangadde enyo j'ejabankuseere kyewuunyizibwa Naye ennabe emazewo abantu, byanfuna musajja atuzisa Tugwawo baana battu obulemu buvudde kw'afunye alabe ng'alya omu N'ekikamudde mwembi entuuyo, asooka okinoga akwekweekerera Bwaliiraliirako mu nkukutu kyava akunnyula alabe ng'ovaawo Awulule ng'abwebwena, nga teri amugambako nti okola ki Ekintu ekyo kimazewo abantu, temunnaba mukyaziika nyo Ndaba nkumu abalinze entaana, nga byebakola bifuuse obusagwa Nze eddako naba nga mpakana, nzikirizza bwe zabanyoola akuzisa Tusabire abafu lwansonga, bangi balangwa byabwe osanga Ne gwebanyaze akukkuluma, naye bwafuna obulungi omuzira kisa Munyazi yekkusa on'obisiba, laba ensi bwesigadde matongo Siyimba baana battu nanga, ate manyi okulingiriza ennyo Jebujjako mulinde birango, ku byendaba kisambye eddagala Akukyaye bw'olaba ng'asituka nawerekera akubanja okimanya nga Nti ovudde mu kulyako akatono, Kakati kufuuse kusiiba Ooohh... Aaahhh... Ooohh... Aaahhh... (x2) Nga twalima bulungi ennimiro, nga buli ajiyitako akungiriza N'ejja ebala emmere eby'ekilalo, amatabi negakweeya obulevu Nze nali nanoonya abalimi munange ye yeyanoonya abaguzi Amakungula negasukka okunyuma, nze nenzija nkoma awo okumanya Bwoba gwe baana battu okola ki, mukkirize situdde mirembe Kasita nalima nga mwerorera, mwalaba bwenasaawa essagazi Eyali alatta ye awulula, basajja be bagezze bisakiro Nze musajja wo nkoozimba, emirerembe mujirinde ndayira Lwakuba nyumya ng'olugero, bwekatalijirya olingamba Wano waliddawo era essagazi, nga bwetwalisanga okujja Ogusiko kufuuke ogusiko, fenna tuddemu era okusaka Omugezi alime oba awalala, naye ennimiro engatte enyoola Sso eyanguwa okujittaanya enyo, kubanga mulima mwejjukanya Amakungula negasukka obuzibu, ng'olima n'eyayinga amaddu Okujjako okufa okwamangu, kweninda kyemanyi ng'empeera Bwessirifa ndisaawa awalala, musajja wo manyi nyo akasimo Okufa nkyogerako nga nkiddingana ndabye nkumu abafudde ebintu Naye ate nenguma lwansonga bwoba ogoba musajja munno olekamu Nange ssirituula ntende, ekibanja kyendesewo olwembi Nakyo kikyanogwamu emwanyi, njagala gufuuke ogusiko Nga n'atemako bwatuuka eka, kakenge n'amusimba akawago Mulijja nennimye eno okusaka, nange nensasa nga abalala Ooohh... Aaahhh... Ooohh... Aaahhh... (x2) Njakwogera kuba nkyasobola, ntuuke okufa ndage mu ntaana Nga nyini ttaka ategedde ensonga, nti abasenze tetutudde mirembe Ne Mukama yayamba buyambi, netukoma kkugatta ennimiro Tuba kugatta wasulwa era ssimanyi nti singa akalangiti nkyakalina Gwe laba nsula eno Ggobero ye munange n'asula nga Ekitemu Naye ne mumaka nyingirirwa, n'anfumbira aliwo ku lusuubo Gwe ate oli maama bwakwavuwaza, nga nemaka totwaala buyambi Eby'amaka bifuule olugero, abakazi bagala oyo alinawo Kyokka baana battu obuzibu, n'olima olabe ng'ovaayo Amakungula negabamu omunyago, kalenziwo alifuuka ennanda Agalenzi geyapiika omwenge, agasituzi g'ensawo omubeera omunyago Ganatera kubuuza wempise, gasime embu mu buya nga nkomawo Kati bwembako jenzigiddwa akalimu, nkeera mu nkoko gwe ate N'amadda nembulinda okuziba, njira nzisa ku tukka otutono Abaganda bagera nno olugero, nti Kabaka tatta naye Agalenzi agawujja omunyama, munnange gegasaakiriza Nga g'egula gabeere maganzi, tegava webawujja omunyama Wano nze wenatiira omunafu, omunafu mbutuufu alya nnyo Ndifuna ekisambu ekirala, nennima mpola nga njimusa Abanafu abalinda ewedde, mulinjula mpuludde bilimba Buganga ono lyali ssagazi, nenfunya olukende okulima Liriddamu lifuuke essagazi, omwaana wa Namyalo ndayira Mu genyini lifuuse eddungu, nga bwetwalisanga okujja Ooohh... Aaahhh... Ooohh... Aaahhh... (x2) Bingi ebitubuzako eddembe, naye nga bandya byange ngenda Oba kambayite banyuunyuuta, ababulwa kumaanyi agalima Betwatuma okunoonya abaguzi, nga negwenalima naye afanagana Bwebadda n'omusimbi ogwavamu, ne bagabanira mu nkukutu Abantu abo ne Kaseera ekkooki, bamulesa ekibanja kiramba N'asenga mu Buluuli ekirala, kati lwaliko ng'omuntu Ate omubbi tagenda kumatira, n'ekkooki balemwa dda ebyayo Abamu mbalabako eyo Busujju, omulala akola eyo Bukunja Kale bakulesawo ennimiro, bwovawo negufuuka ogusiko Bwebalaba kususse okuzika, nebadduka banoonye attizza Nze nakakati nkukkuluma, ne gwenalima naye ono munenya Naye baluleba bbo nsussa, okwagala okulya ng'abalima Buganga ono ogwaali ogusiko, nenfunya olukende okulima Kiriddamu kifuuke ekibira, nga bwetwakisanga okujja Obutooke buddemu okkoozimba, naluno lunnyo lwa kubuganga Okuva edda wabala nga lumonde, nze nnali mbazako ettooke Kuba natemera nga ensukusa, Ng'ebikuta mbisomba Ntwetwe Nembewuunya okwerabira omuntu eyagoba olunnyo oluzibu Bwekatalijirya olingamba, sirituula ka ntobo kukkalira Mpozzi nga kitange omugave, akyuuka tweddire nga enŋaanŋa Ndiwumula akasanke akatono, nkasanze k'ebagazze ettutuma Ooohh... Aaahhh... Ooohh... Aaahhh... (x2) Njogeddeko ebisinga obutono, ebirala mubirinde luli Ng'entuntunu zifuuse ensaali, lwemulimanya nti nnanga Ssembeguya gwe ne Nakalaama, mujja nga nemuyamba emirimu Wendiba nfunye ekisambu ekilala nga jensaawa jemusimba ensijju Zezanguwa era bwoba omuyala, zosooka w'olimye lwansonga Olulanda nezisuula obuntu, n'obuguju obulya ng'oli bubi Kalimanzira nkuwadde omulimu, noonya ensigo ezitajja kuwumba Kuba enkuba oluba eti okukka, ng'abanaku tukunja migongo Gwe muka Kaleebu nkusaba, tandika okunoonya obusimo Obunasiga emmere eno esooka, zino ennene zinakoola nga Tulyoke tulabe ate omuzira, alijja n'atugamba okusaka Tulyooke tumubuuze ensonga, jetwalima kwekyaava eggwewo Nyimbye mutegedde abantu, bwensula nsula nkukkuluma Nga n'ekivuddeko eyo ensonga, ennimiro yafuuka ennimiro Kati musaana kwegendereza, omukwano ku siringi mpaawo Bwolaba nga bwemwaali akugeya, awo dduka ogire ng'obawo Bwoliremerawo gwe mbuyaga, ndabye nkumu abafudde ebintu N'abamu tebanatugwa ku myoyo, abalala balwadde bayi Kyokka ennimiro y'okubuganga, kansirike ndezze ekimala Naye bwewalibawo ekintu, njogedde temugamba omulala Kati nasenguseyo Eggobero, newensula ssikyawogerako Nyingira kiro nga nsowera, nenkeera mu nkoko ng'akanyonyi Mwebale abataddeyo nyo omwooyo, mwebale nakunkaabirako Bwentyo bwensula nkukkuluma, omuntu eyanoonya eddembe
Infotainment
